08/11/2023
Mw. MARTIN LUKWAGO ALIWA?
Zaali nga 3 November 2020, mu katale e Bugoloobi mu Division ye Nakawa. Mw Martin Lukwago yava ku mudaala gwe kweyali atundira eby'enyanja nagenda awummuze ku birowoozo ne banne nga bazannya Ludo.
Wano abampembe abaali mu 'Drone' webabawambira nebabetooloza ekibuga okutuusa ekiro lwebasuula abamu ku baali bawambiddwa eyo mu bitundu bye Muyenga.
Lukwago baamusigaza era na guno gwaaka, mpaawo wa luganda wadde emikwano yali azzeemu kumuwuliza!
Wangadya ensonga baagikwata batya?
Tubanje abantu baffe enkya balikima gwe,