02/02/2024
ɴˢⁱ ʏᵃˡᵉᵉᵗᵃ
Gwe wenna nga buli kimu kigaanye lowooza nyo Kudagala lino, tuliyita Kaama, era waliwo Olugero nti " Omunaku Kaama yerandiza yekka "
Kaama afanana Endaggu era alibwa wabula amera nyo kutale era tewali amalandiza nga bwegubeera ku Ndaggu endala kitegeza yerwanako yekka nasobola okubeerawo.
Kitegeza gwe ali mumbeera enzibu oyina kwerandizza na lubaale wo, ogenda kozesa eddagala nga okowoola lubaale akuyambako.
Ogenda kugatamu Akavawala lwansonga nti lubaale ayinza okuba nga aliwala nga nebworajana takuwulira, kati bwogatamu Akavawala agenda kusembera okumpi.
Gwe ayayina omukisa nga tegukyaliwo, nawe ayagala okusembaza Amaanyi ga lubaale wo Eddagala eryo tulibuusa maaso.
Ogenda kusekula ebikoola ebyo byonna obinyokeze nga buli kiro nga ogenda okwebaka okumala ennaku 9 nga osaba embeera ennungi.
Nyongera okubajjukiza nti tokiriza mbeera mbi kwesibako nga lubaale waffe wali, osobola okuyambibwa kubwerere, era eddagala bwerikolera ligabaneko nomulala.
Enjawulo gyetuyina nti buli Ddagala lyetwogerako tubeera nalyo era gwe atasobola kulifuna mangu tusobola okulikufunira, era nawe ayina ekizibu kyonna tukulagirira erisobola okuyamba.